AMATEEKA KU KUZIMBA: Aba NBRB basisinkanye abakulembeze b’e Kira

https://youtu.be/kKDj_GEEFSIAbakulembeze ba Municipality ye Kira basanyufu n’enkola etandikiddwawo ekitongole kya gavumenti ekya National Building Review Board, okulondoola ebizimbe byona ebizimbibwa nga beeyambisa omutimbagano. Amyuka Town Clerk wa Kira Basamulekere Muganga agamba nti kyakutangira obubenje wamu n’okumalawo abafere abeerimbika mu kuzimba ebizimbe nga tebalina bisanyizo wadde n’obukugu obwetaagisa.